
OMUYIMBI Hanson Baliruno omwaka 2018 agutandikidde mu ggiya omwaka guno gw'okka bukyanga gutandika yakafulumya ennyimba 5 okuli Obulo ne Saidah Kalooli, Kandanda, Njaga ssaako n'abayimbi ba wano abalala abamaanyi omuli Chameleon, Bebe Cool n'abalala.
Mu kiseera kino Baliruno mutaka mu ggwanga lya Tanzania gye yagenze okukubira omuziki ssaako n'okugubunyisa wonna ku TV ssaako ne leediyo z'omuggwanga lino.
Bwanava eno wakugenda e Kenya nayo akole ekintu ky'ekimu era okusinzira ku gava mu kibiina kye ekya 'Star's empire' ,wakukola ekivvulu omwaka guno.