TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Mukomye okwogerera muwala wange amafuukule nti teyasoma - Nnyina wa Spice Diana

Mukomye okwogerera muwala wange amafuukule nti teyasoma - Nnyina wa Spice Diana

Added 14th February 2018

BEAT Nantale ow’e Makindye, Luwafu nga ye maama w’omuyimbi Spice Diana agamba nti awulira ennyiike ku mutima olwa kalebule asaasaanyizibwa ku muwala we nti teyasoma.

Abasaasaanya akatambi Spice Diana mw’atamattamira n’abakuba ebituli mu by’okusoma kwe abayise Bayudda abalina ekigendererwa ky’okulwanyisa muwala we olw’erinnya n’ettuttumu by’afunye mu nsiike y’okuyimba.

“Ensobi zikolebwa bantu ne Diana okwogera ebyo bye yayogedde yabadde nsobi.

Sisuubira nti kino abantu bandibadde bakikuliriza okutuuka ku mbeera eno okuggyako abo abalina ebigendererwa byabwe. Ng’omuzadde era omuntu amanyi nti Diana yasoma n’e Makerere ne bamutikkira, ebigenda mu maaso bimpisizza bubi ne muwala wange naye bijja kuggwa.”

Yagasseeko nti omuntu yenna alinamu okubuusabuusa ku by’okusoma kwa muwala we mu kifo ky’okumulumba n’okumukolako kalebule agende ku masomero okuli; Vallerian Day & Boarding Primary School , Our Lady Fatima Secondary School ne Kampala Citizen College gye yasomera akakase.

Natale okuvaayo kiddiridde abantu okusaasaanya obutambi ku face book ne what’s App ng’omuyimbi Spice Diana atamattama bwe yabade ayogera ku buyigirize bwe ekyavuddeko abamu okutandika okubukubamu ebituli n’abalala okubuusabuusa oba ddala yasoma ebituufu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...