TOP

Abadigize batadde Sheebah ku nninga mu bbaala ya Gibz

Added 20th February 2018

Abadigize batadde Sheebah Kunninga mu bbaala ya Gibz

 Omuyimbi ng'afuuwa Sheebah

Omuyimbi ng'afuuwa Sheebah

OMUYIMBI Sheebah Karungi  olubadde okulinya ku siteegi n’alabulirawo abawagizi nti  ye azze kukuba muziki sso sikumubuuza bya munju kubanga tagenda kubiddamu .

Sheebah okwogera bino yabadde omu ku bayimbi abasanyusizza abantu mu kivvulu ky’okutongoza omwenge omupya ogwatuumiddwa Royal Dutch ekyabadede mu bbaala ya Gibz e Bugoolobi.

Sheebah yeayasoose okulinnya ku siteegi ku saawa 4.00 wakula obutaafaanako nga bulijjo bwatera okujja ku siteegi nga mucamufu .

Kuluno yazze kimpowooze era n’abantu bamwekangidde ku siteegi era wadde olwamulabye enduulu n’esaanikira ebbaala ye teyabadde musanyufu era bakira akuba bukubi muziki .

Wabula wakati mu kivvulu yasirisizaamu ku ndongo n’abuuza abawagizi oba kiri bulungi olwo bbo ne batandika okumuteeka ku nninga abatangaaze ku bikwatagana ne kitaawe byebasoma mu Bukedde era wadde yasoose kwefuula atawulidde wabula abantu bayongedde kumubuuza era yalabye kimuyitiridde n’abasaba ebibuuzo bagira babirese bakube bukubi muziki kubanga gw’asinga okwekakasa.

Abayimbi abalala abayimbye kwabaddeko Fik Fameika ng’ono yalinye ku siteegi n’akuba akayimba ke aka Kutama abakazi ne bataama ne batandika okuzina Bend Over ekyamucamudde ennyo akayimba n’akaddamu  emirundu satu wakati mu nduulu etasalako .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...