TOP

Rema ali mu kutendekebwa mazina

Added 22nd February 2018

MU kutendekebwa okwa kaasammeeme kw’aliko nga yeetegekera konsati ye eya ‘Banyabo’ egenda okubeera ku Serena Hotel nga March 9, 2018, ng’oggyeko okugogola amaloboozi, Rema Namakula agamba nti amaanyi agatadde ku ky’okumutendeka amazina asobole okukakasa bulijjo abamwogerera nti tamanyi kuzina ku siteegi.

“Ekikwatagana n’eddoboozi, tewali kubuuza Rema y’asinga ate nga nnyimba makulu nga bw’owulira obubaka obuli mu ‘Banyabo’.

Olw’okuba siri muzinyi, amazina go mbadde sigagenda kiwanvu naye mu mbeera ey’okwagala okuwa abawagizi bange ‘Full-doozi’ y’ekivvulu kati kino kye nkolako.”

Rema agamba ayagala kukozesa konsati eno okukakasa abantu nti kati ye muyimbi omukyala asinga okukuba emiziki mu ggwanga era waakuyimba ennyimba ze zonna okuli empya nga ‘Tikula’ n’enkadde.

Okuyingira mitwalo 10 n’obukadde busatu emmeeza. Wano Rema bwe yali mu vidiyo ya Tukula ne Patrico Mujuuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...