TOP

Mwanamulenzi ow'e Kibuli takyasabirwa

Added 28th February 2018

Mwanamulenzi ow’e Kibuli takyasabirwa

MEDI Moore ow’e Kibuli abaayo gwe bayita omugagga omuto takyasabirwa. Mwanamulenzi ono ng’amannya ge amatuufu ye Roger Lyadda omu ku bavubuka abamanyiddwa okuvuganya mu nsiike y’okulya obulamu n’esswaga ayongedde okulaga amaanyi ne ssente bwe yeeyiyeemu enzirusi y’ekika kya BMW X6, nga kye kimu ku bika ebipya era abamu bagiyita midumu ebiri.

Enzirusi eno ya bbeeyi era erina buli kika kya malidaadi omuntu kye yandyagadde ku mmotoka ya buyonjo kuba okugitandika tekikwetaagisa kuba na bisumuluzo okozesa ngalo zo oba limooti! Medi eyayingiddewo wiiki ewedde okuwummulako, emirimu gye agitambuliza South Afrika mu kibuga Pretoria.

Ono kati asiiba mu bifo bya bbeeyi gye yeewummulizaako n’okulya obulamu era obwedda abamulaba okuli ne mikwano gye boogera kimu nti “Medi ekyeyo ky’e ‘Sausi’ (bategezza South Africa) akiggyemu ekiramu anti alina n’amaka ag’omulembe g’azimbye.

Meddie kati atambula agaziwa nga bwe yeewaana nti y’aliko anti abasama baddayo dda ku mirimu gyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...