
ISMA Mukuuza amanyiddwa nga Nessim akoze ennyimba z’abayimbi abawerako bamukoledde akabaga k’amazaalibwa ne bamuyiira amazzi n’okumusiiga keeki mu maaso.
Nessim ye yakola ennyimba okuli Gutamiiza olwa B2C, Farmer olwa YKee Benda ne Sheebah, Njaga ne Kandanda eza Hanson Baliruno, Bingi olwa New Chapter Africa, Binkolera olwa Sheebah n’endala.
Ono abadde yeekweka e Mpigi okumala ennaku bbiri ng’atya okumuyiira amazzi ku mazaalibwa ge n’alinda olunaku luyitewo akomewo ewuwe. Abayimbi Bannayuganda abayimbira mu South Africa mu kibuga Pretoria aba New Chapter Africa olwakitegedde nti yakomyewo kwe kujja e Kampala bamukolere akabaga k’amazaalibwa nga baamukwasizza afuluma ewuwe ku makya.
Baamutadde mu mmotoka yogaayoga ku Pearl of Africa Hotel e Nakasero gye baamukoledde akabaga nga baasoose kumusuula mu kidiba ekiwugirwamu ne bamwagaliza amazaalibwa amalungi. Wabula yawuliddwa ng’ayogera ku ngeri gye yaleeteddwa nti yamutiisizza nnyo n’akankana.