TOP

Underwood owa Ebonies akyazizza omusajja omupya

Added 10th April 2018

MUNNAKATEMBA wa Ebonies, Julie Underwood amanyiddwa nga Sharon awooweddwa Farouk Ssempala n’akyusa n’erinnya kati ye Jamirah.

 Jamira ne Farouk nga bamema

Jamira ne Farouk nga bamema

Omukolo gwabadde gwa kukyala mu maka ga ssenga wa Julie e Lungujja ku Ssande wabula abantu baabadde bangi mu weema bbiri z’abantu 100 ku 100, emmere n’ebyokunywa, ebirabo bye baaleese n’ekirabo kya mmotoka Farouk gye yawadde Julie (wadde ng’abadde yagimuwadde mabegako naye yayanjuddwa).

Abamu ku ba Ebonies abakola ne Underwood eyafuuse Jamira nga babuuza abako

Omuko Yusuf Ali nga ye mwannyina wa Julie yakwasiddwa ebbaasa mu kifo ky’enkoko okukakasa abaabadde bawakana nti kwabadde kwanjula era Farouk n’alaga nti agenda kwanjulwa omwaka ogujja mu April.

Julie yasooka kufumbirwa Kalema bwe baali bazannya mu Ebonies ne bagattibwa ewa Diisi mu kibuga Las Vegas mu Amerika kyokka ne bafuna obutakkaanya ne baawukana.

Ssempala naye yaganzaako Zari Hussein nga yaakava ewa Ivan Ssemwanga nabo ne baawukana.

Dr. Bbosa, Olanya ne Barnabus ne Kopolo Kute (ku kkono) nabo baabaddeyo.

Eyali muka bagattululwa Gwabaddeko abayimbi nga, Evelyn Lagu, Henry Mayanja, Queen Florence, Sheila Ssekyanzi n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Faaza ng'abatiza omwana wa Nambi (mu kifaananyi) attiddwa bw'akubiddwa amasasi.

Owa 'Mobile money' akubiddw...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nalugala ku luguudo lw'e Galuga mu Town Kanso y'e Katabi omutuuze waabwe...

Omumbejja Mazzi (ku kkono) ne Paasita Musisi (wakati) ku mukolo kwe yadduukiriridde abaliko obulemu.

Beekokkodde abezza eby'abal...

ABAKULEMBEZE b’abaliko obulemu mu Disitulikiti y’e Wakiso beekokkodde abamu ku bakulembeze abezza ebintu ebiba...

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...