TOP

Urban Ratibu bamututteko omuwala n'akuba emimiro

Added 12th April 2018

OMUSUUBUZI w’omu Kampala abadde anoonya omukyala ow’okuwasa, amaaso gaggukidde ku mwanamuwala omubalagavu Esther Ellah Namubiru! Wadde abamu ku mikwano gy’omuwala baategeezezza omusuubuzi nti, “oyo gw’oliko nga muntu wa Urban Ratibu”, yasazeewo abifune kuva mu kamwa ka Namubiru yennyini.

Kavuma bwe yabuuzizza Lillian ‘ekiriwo’ yamuzzeemu nti talina musajja era bw’afuna omusajja ‘ali siriyaasi’ by’ayiseemu emabega ‘tayagala kumanya’!

Esther Ellah Namubiru ye muwala, Urban Kasalabecca Ratibu Jooge ng’ono dizayina w’abayimbi gwe yali yazza mu kya Rebecca Jingo gwe yalekawo kyokka baamututte era Omulangira Jo okwongera okulaga Lillian nti ali ‘siriyaasi’ baakyadde ne mu bazadde b’omuwala.

Omu ku bamanyi abaagalana bano, yagambye nti omusuubuzi ono amumanyi nga Giggs Kavuma abeera e Kireka ng’amanyiddwa mu kutunda n’okugula ettaka.

Abaalabye ku mukolo gw’okukyala baasigadde beebuuza oba kikyetaagisa ate okwanjulwa anti yaleese ebintu bingi ebikola okwanjula.?” Urban Ratibu nnannyini kkampuni ya Ratibu Empire etegeka ebivvulu era yaliko maneja wa bbaala ya Establishment ne kitunzi wa Sky Beach, yawunze bwe yafunye amawuulire gano era agamba nti tannatereera.