
Aba B2C nga bali mu lukung'aana lwa bannamawulire ku freedom city
ABAYIMBI ba B2C balangiridde nga bwe bakyusizza olunaku lwe baali balonze okutegekerako ekivvulu kyabwe ku lunaku lumu ne SWANGZ Avenue.
Bano ababadde bateekateeka konsati yaabwe ebadde ey'okubaawo nga 31 Aug wabula nga ku lunaku lwe lumu olwo n'ab'ekibiina kya Swangz avenue kwe bagenda okujaguliza emyaka 10 era nga bateekateeka n'okuleeta omujamaica Tarrus Riley.
Bategeezezza nti okuvuganya mu kukuba omuziki bbo tebalulaba nga lutalo wabula kye bafaako ennyo kwe kulaba nga bawa abawagizi baabwe ekyo kyennyini ekibanyumira era ekibasuubirwaamu yensonga lwaki basazeewo okukyusa olunaku bongere okweteekateeka obulungi.
Bino babitegeerezza mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku Freedom City omwabadde ne mukama waabwe Andy events, Jonathan Nalebo okuva mu humble management, aba B2C bona omuli Bobby Lash, Delivad Julio and Mr Lee nga bakyusizza okutuusa nga 7 september.