TOP

Aba paaka bawambye oluguudo

Added 2nd May 2018

AGAVA e Nateete ge g’abakulira paaka ya takisi eno okuwamba oluguudo lwa KCCA era aba takisi batolotooma olw’empooza gye babakakaatikako.

 Baddereeva ga bakaayana n’omuserikale olw’ekijegere.

Baddereeva ga bakaayana n’omuserikale olw’ekijegere.

Empooza eno tekoma ku takisi zokka wabula n’emmotoka endala ekikozesa oluguudo olusalako okuva e Nakawuka okuyita mu paaka ya takisi eno okugenda okunywa amafuta ku Total.

Owoolugambo waffe atugambye nti oluguudo luno lwa KCCA nga yaluteekawo okukendeeza ku bulippagano bw’emmotoka.

Mmotoka eziva e Mutundwe zisobola obutagenda ku bitaala by’e Nateete nga zidda e Mityana ne zisalira ku luguudo luno okutuuka ku Total.

N’eziva e Busega zisobola okuweta ku Total ne zidda ku luguudo lw’e Nakawuka nga teziyise ku bitaala kyokka abakulira paaka y’e Nateete oluguudo luno baaluwamba ne basibawo ekijjegere nga buli mmotoka eyitawo bagisoloozaako 1,000/-.

Kino kye kyaleetera ne ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo okukuba ekikonde abasajja bano gye buvuddeko.

Ekyebuuzibwa takisi etakolera mu paaka y’e Nateete ng’esasula ssente za KCCA lwaki bagisasuza empooza?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...