TOP

Kituufu Mayinja alokose oba kiwaani kya Bobi?

Added 10th May 2018

RONALD Mayinja owa Golden band alokose ne yeewaako obujulizi nti abadde agenda kwetta olw’ebizibu ebimuzimbyeko akayumba.

Mikwano gya Mayinja nga bakulembeddwaamu, Henry Mayanja omukubi w’ennanga be baamututte ewa Paasita Robert Kayanja ku Miracle Centre Cathederal e Lubaga mu kiro ekyakeesezza Mmande wakati mu kusoberwa olw’embeera gye yabaddemu.

Okutuuka ku katuuti, Mayinja yasimbye olunyiriri lw’abantu abalina ebizibu eby’okusabira.

Olwatuuse mu maaso ga paasita Kayanja, yatutte obudde n’amuyitiramu ebizibu bye mu kyama ekyaddiridde kumuteekako mikono n’amusabira.

Wakati mu ssaala eya mafuta, Mayinja yalabise nga Mwoyo Mutukuvu amulinnyeko era n’agwa mu kifuba kya pasita Kayanja.

Oluvannyuma Paasita Kayanja yamwanjudde eri abagoberezi n’abategeeza nti alokose.

Yagambye nti gwe mulundi gwe ogusoose okusisinkana Mayinja kuba bulijjo amulaba ku ttivvi.

Mayinja bwe yaweereddwa omuzindaalo okwogerako eri abantu abeetabye mu kusaba yagambye nti.

“Mbadde mu bulamu obusanyusa okutunuulira naye nga bukaabya nnyini bwo.

Olwaleero nsabye okufa emirundi esatu ng’ekintu ekintawaanya kimaze emyaka ena (naye oluvannyuma neekubye mu mutima ne ηηamba nti siyinza kufa, kwe kwebuuza ebbaala enzigule waakiri ηηende eyo ne sigendayo.

Ndowoozezza ku kkanisa (ndi w’e Namirembe) naye ne neebuuza enzigule ku Mmande nga sigiraba.

Mikwano gyange kwe kunkwata ku mukono ne bandeeta wano. Paasita olumuyitiddemu ebizibu byange ansabidde era okuva leero nzikirizza Yesu Kristo okuba Omulokozi wange.

Mbasaba mwena munsabire ne Mukama ampe amaanyi okuvvvunuka ebizibu bino,” Mayinja gwe twayogedde naye eggulo ku ssimu bwe yabuuziddwa ebizibu ebimuyinze ne bimutuusa n’okwagala okwetta, yagambye nti nsonga ze za kyama era eby’omu nju tebittottolwa.

Yawakanyizza ebyogerwa nti yabadde anoonya ssente na kukola mawulire nti si bituufu.

Wabula abamuli ku lusegere baategeezezza nti Mayinja ennaku zino ebintu tebimutambulira bulungi awaka olw’obutakkanya bw’azze afuna ne mukyala we Aisha ne mu nsike y’okuyimba nga ne gye buvuddeko abawagizi be baamutabukira olw’okuyimba ku mukolo gwa NRM e Kiboga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...