TOP

Wabula olula!

Added 13th May 2018

Wabula olula!

EBINYONYI nabyo obulamu bubyagala nga bantu! Ekinyonyi kino ekyabadde kinoonya emmese n’ebyewalula bye kiyinza okuzza eri omumwa kyekanze engo nayo eyabadde eyigga akaliibwa. Olwo yabadde esooba okukikwata egikavvule nakyo kwe kugirengera ne kitandika okwanguyirira. Wango bwe yabuuse akikwate nakyo kwe kubuuka mu bbanga.

Wango yataddemu amaanyi ne yeekasuka mu bbanga ekivumbagire wabula nakyo ne kyongeramu sipiidi era singa yabadde muntu kyandigambye nti ‘wano wafi ira muloge’. Wango bwatyo baamusinzizza emisinde gy’okuseeyeeya mu bbanga era olwekkasse ku ttaka yasigadde mu kwekomba nti ‘nnyabula omponye’.

Abalambuzi okuva mu Australia be baakubye ebifaananyi bino mu kkuumiro ly’ebisolo erya Serengeti wano ku muliraano mu Tanzania.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.