TOP

Maama Fiina agumanyi...

Added 28th May 2018

SOPHIA Namutebi Ssegujja abangi gwe bamanyi nga Maama Fiina yayingiddewo ng’awaga nti ‘mugumpe mbalage’. Baagumusimbye olwo ne batandika okuyimba nti, ‘‘agumanyi... Maama Fiina agumanyi’’.

Ekyaddiridde kusiba ssente ne bamusimba omuggo oguzannya Pool guyite ‘Cue’ n’alumba emmeeza okubalagako nti asobola.

Kyokka waliwo abaagambye nti okusinziira ku ngeri gye yabadde akuttemu omuggo yabadde tayinza kukubayo wadde akapiira akamu.

Maama Fiina eyalabise ng’ali ku bunkenke ebintu tebyamutambulidde bulungi era omupiira yagukubye bbali ne bamukuba olube nti eeeh... Maama tolina tageti.

Yawanikiddewo n’agamba nti...bannange mbadde mmanyi nti ebintu byangu naye olaba sikubyeyo wadde akapiira akamu, mbivuddemu.

Yabadde aggulawo empaka za ‘Pool table’ ezatuumiddwa ‘Maama Fiina Pool table tournament’ ezaabadde e Bulenga okumpi n’amaka ge.

Zeetabiddwamu abavubuka okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era bano yabawadde obukadde buna ez’abawanguzi.

Yabakubirizza okukola ennyo bave mu bikolwa by’okuwamba abantu nga baagala ssente ez’amangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...