
Waliwo omuwagizi we nga Mumerika amuwadde ekyuma ekika kya Harrier nnamba UAV 255 E atambuliremu n’okukola emirimu gye n’amuwonya okukuuta enfudu n’okubuukira bodaboda.
Omuvubuka ono Mulindwa muyimbi wa nnyimba z’ekika kya RNB ne Pop Music nga n’abamu baamukazaako lya Micheal Jackson. Ggaayi ono ye yayimba ennyimba nga Wabulirawa ne Maziga g’eggwanga.
Mulindwa ku kuyimba agattako okuyamba abaana abatalina mwasirizi nga kirabika kye kyacamudde omukyala ono Cathy Houk okuvaayo amukwatireko.
Yawuliddwa nga yeewaana nti naye yayingidde dda mu lubu lw’abaloodi anti atambula atudde nga n’empewo ya bodaboda yagisiibudde dda.