TOP

Bagundi emyaka 30 gye mbakulembedde gimala!

Added 29th June 2018

Bagundi emyaka 30 gye mbakulembedde gimala!

ABATUUZE ba Nkumba Central mu Town Council y’e Katabi olwawulidde nti okulonda bassentebe ba LC kubindabinda kwe kulowooza ku abadde ssentebe waabwe Dr. Herbert Ssekandi okumwongera ekisanja nga bagamba nti omulimu agukoze bulungi! Wabula abeesoose n’agamba nti emyaka 30 gy’akoledde omulimu guno mingi ng’ayagala okuwa abalala omukisa nabo baweerezeeko.

Ku mukolo ogwabadde ku kasaawe ka Conbert Modern Primary School e Nkumba kwe yalangiriridde nga bw’atagenda kuddamu kuvuganya mu kalulu akabindabinda kuba obuvunaanyizibwa bweyongera nga yayongerako okutendeka abayizi ba yunivasite y’e Nkuba. Kino kyalese abatuuze nga Fred Gaayi Mukasa, Vincent Lubega ne Nathan bawaga nti kye kiseera nabo okulaga abatuuze ba Nkumba Central nti basobola okuweereza. Okumanya Dr. Ssekandi (ku kkono) abadde afuuse ensonga, Ssentebe a Disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika (ku ddyo) ne meeya wa Katabi, Omulangira Kalema Ronald Basammulekere (wakati) nabo baabaddewo.

Wabula abatuuze baasigadde beebuuza oba ddala bano abajja banaakwata bulungi ensonga z’ettaka, enguudo, kasasiro oluusi n’ensonga z’amaka nga Dr. Ssekandi bw’abadde akola. Katulinde abatuuze gwe banaalonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...