TOP

Omuziki guggye Carol ku kusula mu bbaala

Added 13th July 2018

Omuziki guggye Carol ku kusula mu bbaala

BW’OYOGERA ku linnya Carol Namulindwa abamumanyi bakuddamu kimu “ogamba mwanamuwala asula mu biduula ne banne nga batiguka?” Wabula Carol agamba nti katio ali ku kikwekweto kweyubula nga n’amannya kati yeeyita Karole Kasita omuyimbi.

Carol y’omu ku bawala ababadde beegulira erinnya mu kulya obulamu mu Kampala nga n’ebifo ebimu ebisanyukirwamu ye ne mikwano gye baabifuula maka gaabwe naye nga kati yasala ‘puleesa’ anti mu bifo ebimu gye ‘bakasibiranga’ takyalabikayo awalala gy’alabika abeerayo ssaawa mbale ng’afuluma. Carol gwe twayogeddeko naye yatutegeezezza nti kati yadda mu kuyimba mu S$S band.

Alina ennyimba nga ‘Musujja gwa laavu’ n’endala. Agamba nti okuyimba kwetaaga obudde obumala okuyiiya ennyimba n’okuwummula y’ensonga lwaki yakendeeza eby’okucakala. Wabula wadde Karole ali ku kikwekweto kweyubula, eby’okwesala bukokoonyo ku kyamulemeddemu era wano yewolereza ng’agamba nti “nkola binyumirwa sitambulira ku bigambo by’abantu.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...