TOP

Abadde yeeyita DPC n'afera abantu atunudde ebikalu

Added 22nd July 2018

Abadde yeeyita DPC n’afera abantu atunudde ebikalu

EVVUBUKA eribadde litulugunya, okubba n’okukwata abagoba ba takisi e Busega ku siteegi y’e Mityana - Mubende atunudde ebikalu n’amaaso okumukanuka.

Kiddiridde baddereeva ba ttakisi okumutaayiza ne bamutabukira mu maaso ga poliisi ne bamutwalaganya nga ne nabugi si mufungize.

Ssande Ssekweyama okugwa mu ggaapu z’abatakisi bano kiddiridde okugenda okukkakkanya olutalo lwa baddereeva abaabadde balumbye abakulembeze baabwe nga babalumiriza okubba ssente zaabwe eza ‘munno mukabi’.

Engeri Ssekweyama ono gy’alina omubiri yazze awaga nga bwayogeza obuyinza kyokka baddereeva tebamugannyizza kuddamu kwogera kigambo kyonna ne bamwambalira okukkakkana nga poliisi emuyodde n’emukuba ku kabangali kaayo okumutaasa.

Yagezezzaako okwewozaako nga bw’abadde yeeyiiya nga tebamuwuliriza. Yatwaliddwa ku poliisi ne bamuteeka emabega w’emitayimbwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...