
Yabadde yaakava ku bitaala bya Jinja Road ng’edda ku ky’e Luzira okumpi n’ekitebe ekivunaanyizibwa ku nsonga z’omu ggwanga munda b’ebasikako.
Yasoose kusikondoka oluvannyuma n’ezikira omulundi gumu n’ekyaddiridde abaserikale abaagibaddemu kugivaamu ne bagisindika.
Baasoose ne bawadaawadako kyokka n’egaana n’ekyaddiridde kugiyingiza we bakanikira mmotoka za poliisi efune obujjanjabi.
Oba yabadde erina ebirwadde byayo ebigitawaanya kubanga yalabisenge ekuliridde mu myaka oba amafuta baabadde banywedde bwendo? Nze naawe.
Baagenze okugiyingiza munda ng’akatuuyo kabayitamu.