
Abaasoose okumulaba baalowoozezza nti osanga afunidde ne maawa w’abaana kyokka bwe yazze ebbali n’asooka okuseesa manya okulya essowaani esooka kwe kukwata endala nayo n’agisaanyaawo nga bw’agamba nti ebintu by’amasala bw’obiteekamu ensonyi oyinza obutakkuta.
Abaamulengedde e Kasangati ku kitebe ky’Essaza ly’e Kyaddondo ku wiikendi baasigadde bamunyeenyeza mutwe ng’abamu bwe bagamba nti kirabika yabadde asonda ga kutema ddansi ate abalala nti ayinza okwegaana nga bw’atalina mululu.