TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Ensi egudde eddalu!! Kiiza atabuka atya ne Kizza nga bonna ba kibiina kimu?

Ensi egudde eddalu!! Kiiza atabuka atya ne Kizza nga bonna ba kibiina kimu?

Added 12th August 2018

HON. Winnie Kiiza ye yasoose okwemulugunya ku ngeri gye baamunaanudde ku kifo ky’omubaka akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti.

Yabadde ayogera ng’abali ebbali bataputa engalo ze ezaalabise ng’ezisonze e Kasangati.

Olwo Winnie Kiiza yabadde takyajjukira nti e Kasangati gy’ayolekeza ebigambo waliyo gw’alinako akakwate – ye Kizza. Dr. Kizza Besigye naye teyaludde n’addiza Kiiza omuliro.

Yamulabudde mu bigambo bitaano byokka: ‘Bw’oba toyagala nkyukakyuka, wano wakulemye!’ Olwo Besigye yabadde takyajjukira nti gw’addiza omuliro takoma ku kubeera Kiiza wabula ate aliko n’erinnya lya Winnie, ly’agabana ne “Maama Anselm” Ying. Winnie Byanyima.

Bombi mu kulumbagana okwo baabadde balwanira mu ddiba limu – FDC era abawagizi nga bali mu ssaala beegayirira Katonda olutalo luggwe mirembe, ng’eddiba mwe baggamye tebaliyuzizza.

Naye nga lwaki ensi etuuka okugwa eddalu, abakulembeze okweyuzaayuza ng’ate ba kibiina kimu?

Wakati mu kweyuza, baba tebakyajjukira nti abasinga okukosebwa be bawagizi be baasikiriza ne babasimba mu migongo ne balayira n’okulayira nga bwe batagenda kutunula mabega gye baava.

Ensi ng’enaalaluka, abakulembeze be basooka okwereega ebikya olwo abawagizi ne bayita ne ku bikya ne baggyayo ‘butida’ ne bazoolekeza bawagizi bannaabwe.

Abandiruηηamizza abawagizi ne boogera olulimi lumu kubanga ba kibiina kimu ekirina ebigendererwa nga bye bimu ate be bakulembera mu kulaga enjawukana mu ndowooza era abamu ne beekangabiriza nga bawunzika nti:

“Ekyo nakyo kijja kuggwa.” Abamu batuuka n’okwerangira nti; “Twakulaba ng’otandise okukukuta ne ba gundi…. ne tumanya ekibiina ojja kukiryamu olukwe’’ kyokka ate ne bawunzika nga bakubiriza abawagizi okubeera obumu awatali yeekengera munne.

Abakulembeze beebamu, omu bw’alangirira nga bw’aggyeewo “Airtime” owookutakula, ate omulala asinziira ku katuuti akalala n’alangirira nti ekyo kikyamu era n’alagira bamuzzeewo mangu.

Ne ku musolo gwa Mobile Money baayogera Lusaddukaayo; ne baleka be bakulembera mu kusoberwa kw’otalabanga.

Abakulembeze musaasire ensi ereme kugwa ddalu nga mutambulira mu buufu bumu tuleme kuwulira maloboozi gakoonagana ne tubulwako eddoboozi lye tugoberera.

Bwe mutaakole ekyo, be mukulembera abamu bajja kumaliriza bagoberedde Nnakyeyitabya.

Njogera mazima meerere, ssiri munnabyabufuzi ate sinnaba kugwa ddalu nga bagundi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...

Maama ne muwala we.

Ettaka litabudde omwana ne ...

MAAMA ne muwala we batabuse lwa mmaali ya busika buli omu gy'akaayanira. Omwana yatuuse n'okuloopa nnyaabwe nga...