
Tugenda kubakuba omuziki mukkirize nti tulina waaka.
Abayimbi b’ekibiina kya B2C bwe baagambye. Omanyi ennaku zino basiiba batambula mu bitongole ne ofi isi z’abawagizi baabwe nga babajjukiza okubaayo mu kivvulu kyabwe ekisoose.
Abavubuka okuli: Mr. Lee, Julio ne Delivad be baayimba ennyimba nga ‘Gutamiiza, Kapande, Sure Deal, Wanyonoona, African Beauty’ n’endala.
Enkeera nga September 8, bali ku Satellite Beach e Mukono ate ku Ssande babeere ku Big Zone e Nansana. Vision Group efulumya ne Bukedde yeebataddemu ssente.
Wano baabadde mu ofi isi za Bukedde.