TOP

Chamilli atya Daniella?

Added 5th September 2018

ABANTU batandise okuyita omuyimbi Jose Chameleone omutiitiizi.

ABANTU batandise okuyita omuyimbi Jose Chameleone omutiitiizi.

Chameleone bwe yabadde ayimba ku mukolo gw’okuggulawo olukung'aana lwa Bannayuganda abali ku kyeyo abeegattira mu kibiina kya Uganda North American Association (UNAA) e Seattle mu Washington ku Mmande, yakubye abadigize emiziki ne basiima.

Bwe yasirisizzaamu n’abawa omukisa buli omu okusaba oluyimba lw’ayagala n’alubakubira layivu.

Waliwo abaamusabye ‘Dorotia’ ate n’agaana okulukuba n’abagamba basabe endala ng’agamba nti buli lw’aluyimba nga mukyala we Danniella Atim Mayanja anyiiga.

Dorotia lwe lumu ku nnyimba za Chameleone ezasooka ng’awaana Dorotia, maama wa muwala we omukulu Ayla Mayanja.

Wano abantu we beebulizza nti Chameleone atya mukyala we Daniella?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...