TOP

Omuyimbi Umar Mwanje afunye maneja

Added 21st September 2018

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ‘Omwana wa musajja ne Ttivvi y’omu ddiiro’’ bamuggye ku kaguwa.

 Omuyimbi Umar Mwanje (ku ddyo) ng'ali ne maneja we Omusumba Muyingo Moses Bright.

Omuyimbi Umar Mwanje (ku ddyo) ng'ali ne maneja we Omusumba Muyingo Moses Bright.

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ‘Omwana wa musajja ne Ttivvi y’omu ddiiro’’ bamuggye ku kaguwa. Afunye maneja omupya amuteekamu ssente n’okumuyambako okutambuza omuziki.

Owoolugambo waffe atugambye nti Omusumba Muyingo Moses Bright owa Gods Healing Tower e Nabweru Nansana (ku kkono) y’amukutte ku mukono era w’osomera bino nga yamufunidde dda omuntu n’amuwandiikira oluyimba lwe baatuumye ‘‘Sweet Mula’’ n’okulukwata ku lutambi nga lwatandise n’okukubibwa ku leediyo ezimu.

Mu luyimba luno Mwanje abeera awaana mulamu we atera okubakyalira awaka. Loodi ono yaliko mu Revival Band eya Paasita Yiga n’addukayo. Yagambye nti Muyingo waamukwatidde ku mukono ng’ensi emukubye obuggo n’abutegeera anti nga tewali amuyamba kukola nnyimba kyokka okuva lwe yafunye maneja ono kati gy’agenda alabayo n’awera okulwana ng’omusajja okudda ku ntikko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...