
Moses Golola ng'alaga waaka.
OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola ‘Of Uganda’ kuno okutendekebwa kwaliko kwandimufuula omulema.
Bwe yabadde tannaba kulinnya bbaati kugenda bweru wa ggwanga, twamuguddeko mu kutendekebwa kyokka obwedda buli atunula ku ffulaayi y’empale ye ng’akuba enduulu olw’engeri ‘‘masita we’’ gye yabadde azimbyemu ye obwedda ky’ayita okuba ne waaka. Yeewaanye nti yeekozeemu omulimu era buli wamu waaka ali supa.
Kyokka waliwo abaawuliddwa nga bagamba nti musajja waabwe tafuuka omulema olw’ebitundu ebimu okumutabukako. Golola ne Ssemata balina olulwana lwe bategese ku Freedom City omwezi ogujja.