TOP

Oluyimba lutabudde Umar Mwanje ne mukyala we

Added 24th September 2018

Yagambye nti mukyala we asusizza okwefuula bbize nga kwatadde n’okumutigomya n’agamba nti ye akyatudde oba amugaana amugaane ekigambo akyevudde. Yalaajanye nti ne bw’amutuma ku nnyanja amuleetere enkejje ajja kuzimuleetera.

 Umar Mwanje eyayimbye 'Sweet Mula''

Umar Mwanje eyayimbye 'Sweet Mula''

OMUYIMBI Umar Mwanje azuukidde. Si bino eby’okuva e Magombe n’adda ku nsi wabula ezuukiridde mu kukuba ebidongo n’okuyimba.


W’osomera bino ng’afulumizza oluyimba olupya lwatuumye ‘‘Sweet Mula’’ ng’awaana mulamu we atera okubakyalira awaka. Mwanje agamba nti buli mulamu we lwamuyitako amukubya amasannyalaze era kyandiba ng’alimu ekyama kye balina okuzuula.  Musajjawattu mu kugezaako okumatiza mulamu we yatuuse n’okukola olugambo n’amuloopera mukyala we nga bwatamuwa budde nga n’eby’okumubikka yabivaako dda era kye kimukozezza.  


Yagambye nti mukyala we asusizza okwefuula bbize nga kwatadde n’okumutigomya n’agamba nti ye akyatudde oba amugaana amugaane ekigambo akyevudde. Yalaajanye nti ne bw’amutuma ku nnyanja amuleetere enkejje ajja kuzimuleetera. Oluyimba luno olulimu ekidongo ekitaleka muntu wansi luli mu ennimi ez’enjawulo okuli Oluganda, Olutooro, Olusoga, Olugisu n’endala.


Oluyimba luno oluwadde Mwanje essanyu olw’enjeri gye luzzeemu okumutunda yalukwatidde mu Double Kick Studio eya David Lutalo. Mwanje eyaliko mu Revival Band yakyaka nnyo olw’ennyimba nga: Ttivvi y’omu ddiiro, Omwana wa musajja, Bw’ondekawo mpedde, Omwana anfaananye ne Nnina ekyejo.

Wabula agava e Nabweru gagamba nti mukyala wa  Mwanje olwawulidde oluyimba luno n’atabuka ng’agamba nti kirabika ayise mu luyimba okumutegeeza nti amukooye kati n’asalawo kuwaana okudda mu kuwaana muto we. Mwanje yagezezzaako okwewozaako nti by’ayimbako si byategeeza ng’omukyala tamuwuliriza.
Omusumba Muyingo Moses Bright owa God’s Healing Tower e Nabweru yamukutte ku mukono okumuteekamu ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...