
Lukwago (wakati) n'abaserikale abamukuuma
LOODIMEEYA Erias Lukwago y'omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n'okutulugunyizibwa abaserikale.
Gye buvuddeko abaserikale baamutaayiriza mu maka ge e Wakaliga era yali agezaako okubawanya ne bamukwata ne bamunyiga awabi n'awowoola nga bbebi.
Kati wiiki ewedde yalabiddwaako ku mukolo gw'okujjukira eyali Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka era yazze n'abaserikale babiri ng'atambulira wakati.
Wano abantu we baatandikidde okwekuba obwama n'okwebuuza nti bano abakulu babeera wa nga mukama waabwe bamunyiga.
Abaserikale bano bakolera mu kitongole kya poliisi ekirwanyisa abatujju.