TOP

Ensibuko ya Rema etabudde abaamukuza

Added 16th October 2018

Ensibuko ya Rema etabudde abaamukuza

 Rema Namakula

Rema Namakula

OMUSAJJA azze mu Bukedde n’ategeeza nti ye jjajja w’omuyimbi Rema Namakula wadde ng’omwana tabalabawo. John Chrisestom Muyiisa ow’e Kibaale-Ssese nga ye yali omukiise w’essaza ly’e Bujumba mu lukiiko lwa 1995 olwabaga ssemateeka w’eggwanga, agamba nti talina kigendererwa kya kwesiba ku muyimbi oyo kumufunirako kubanga alinawo naye ekimuluma ye mwana obutamanya musaayi gwe.

Muyiisa agamba nti ebimu ku bimuluma kwe kuwulira muzzukuluwe ng’agambibwa nga bw’atamanyi bamuzaala gattako okubeera n’omusajja (Eddy Kenzo) gw’atabalaga mu butongole. Wano Muyiisa kwe kuwa Kenzo amagezi yeeyanjuleyo mu bakadde bamanye omuntu omutuufu alina omwana waabwe.

Ku Kenzo yayongeddeko nti ‘Oyo naye mumanyi bamuzaala wali Ssenyange (Masaka).’ Wabula Mzee Muyiisa agattako nti waliwo abamu ku b’ekikakye be yayise abafere abaayita ebbali ne bafunza Rema nga bagamba nti bokka bebali mu kika era beebo b’amanyi. Mu balala be yayogeddeko ye muyimbi Halima Namakula ng’oyo Rema gw’atwala nga kitaawe ne nnyina, nti Halima okumwefuga bwali bunafu bwa bassenga ba Rema be yali abeera nabo e Gayaza nga tebamuweerera.

Muyiisa anyumya nti taata wa Rema ye mugenzi Charles Mukiibi eyali omutunzi w’amasuuti mu Masaka era yafa Rema muto nnyo. Mukiibi yazaalibwa mukulu wa Muyiisa ayitibwa Aloysious Mukiibi mu Nyendo –Kayirikiti.

Maamawe yali akolera mu Kisenyi mu Kampala. Agamba nti Rema e Ssese tamanyiiyo naye ng’abamuzaala omuli ne Gerald Ssemwogerere eyali Meeya (mukulu wa Muyiisa), Omubaka Muyiisa n’abanene abalala bava mu kika ekyo.

Rema amwanukudde Rema bwe yawulidde bino yamuzzeemu nti; Kisoboka kitya Mzee (Muyiisa) bw’aba akakasa nti be banzaala, okumunoonyeza mu mawulire ng’ate ye tamugobangako.

Ku ky’okuyita Kenzo okumwanjulayo yagambye nti omusajja gw’alibalaga ye mutuufu ate alimulaga bamaze kumunoonya mu butuufu naye n’essaawa eno tebayinza kubiwulira buwulizi nti Kenzo ye bba ne batuuka n’okumuyita amwanjule nga ye Rema tasoose na kumulaga ssenga.

Halima Namakula attottodde Omwana bamuleke amanyi abantu abatuufu abamuzaala naye nze simulemesangako naye bamanye nti Rema muntu mukulu kati yeetegeerera. Maneja wa Rema ky’agamba Geofrey Kayemba; Nange mpagira Rema ku ky’okumunoonyeza mu mawulire kubanga bwe muba mwe mumuzaala mwandibadde mumusanga waka n’obujulizi bw’obuzaale bwe bwe muba mubulina. Ababamanyi bye bagamba Waliwo abagamba nti Rema alina ettabi ly’ekika ky’Abasese b’akkiririzaamu ng’abamuzaala era abo be baamulaga ne kitaawe we yaziikibwa mu Nyendo- Kayiritiki, era nti we yagenda n’akolawo n’emikolo nga buwungeera. Nti ekyamutamya abamu ku bamuzaala, kwe kubamutwalira nga wa mwaka gumu nga kitaawe afudde ne basaba nnyina obujulizi bw’obuzaale bwe obungi n’abaviira ate eyo emboozi Rema n’agimanya ng’akuze ne yeetamwa n’abeesonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...