TOP

Ono omuwala ayogera biki ebikanze muzeeyi?

Added 4th December 2018

MARGARET Nalubega mukyala musuubuzi mu kibuga Mityana. Ababadde bamulaba ng’abala ssente okuli ne kitaawe Godfrey Lubega eyali omubaka wa Kassanda North mu Palamenti babadde tebakirowoozangako nti alina n’ekitone ky’okuyimba.

Mu birungi Nalubega bye yeenyumirizaamu mulimu n’okulinnya ku nnyonyi n’agendako mu nsi z’ebweru okuwummulako n’okusuubula.

Kati yategese akabaga gye buvuddeko okwebaza Katonda olw’ebirungi byatuuseeko n’okusabira bazadde be.

Ng’omukolo gugenda mu maaso, Nalubega yasuddemu oluyimba lwe yatuumye ‘‘Ng’enda Malaysia’’ mw’akoonera ku bantu ab’enjawulo abamubeereddewo.

Kitaawe Lubega olwawulidde erinnya lye n’ayingira eddiiro okusala ddansi kyokka obwedda Nalubega alina ebigambo by’ayimba ebyakanze kitaawe ne yeesika.

Baabadde Bukuya mu disitulikiti y’e Kassanda gye buvuddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.