TOP

Hajji Ntege Sebaggala aggudde ku Don Nasser emisango

Added 6th December 2018

AL -Hajji Nasser Ntege Sebaggala aggudde omusango ku Don Nasser ng’amannya ge amatuufu ye Isaac Nduhukire olw’okweyita ky’atali n’afera Abazungu. Agamba nti Don yeeyita mutabani we ekintu ekikyamu kuba tamumanyi.

 Hajji Ntege Sebaggala. Ku ddyo, Isaac Nduhukire eyeeyita Don Nasser ng’ali mu kkooti.

Hajji Ntege Sebaggala. Ku ddyo, Isaac Nduhukire eyeeyita Don Nasser ng’ali mu kkooti.

Omuzungu Stella Harriet Slack ng'ayita mu bannamateeka ba Crane Associated Advocates ne Bbaale & Partners Advocates, naye yagguddewo omusango ku fayiro CS 867/2018 ng'alumiriza Don Nasser okumufera ddoola 250,000 mu ddiiru ya zaabu, asabye kkooti emuwalirize okuzimuddiza nga zirimu n'amagoba ga bitundu 20 ku 100.

Stella mu mpaaba ye agamba nti mu August wa 2017 Don Nasser yamuyingiza ddiiru ya zaabu n'amukakasa nti asobola okumuwa zaabu n'amutunda mu United Arab Emirates. Yamusaba ddoola 300,000 bamukebere oba mutuufu olwo amutikke ku mmeeri amumutuuseeko.

Olwakwata ssente yabawa lisiiti njingirire ng'akozesa kkampuni ey'ekiwaani. Bwe baamukwata mu September, yasasulako ddoola 50,000 ne baamuwandiisizza endagaano n'okumukwata ku katambi.

Bwe yatuuse mu kkooti yabyegaanyi n'ategeeza nti eyamuwawaabira mukwano gwe kyokka tebakolagana mu bya bizinensi. Baamusimbye mu maaso g'Omulamuzi Mary Babirye e Ntebe ne bamusomera egy'okufera Omumerika Johnhill ddoola 700,000.

Yabyegaanye Omulamuzi n'amusindika ku limandi mu kkomera e Kigo okutuusa December 17.

Munnamateeka we, Wycliff Tumwesige yategeezezza nti bagenda kusaba okumweyimirira.

Nasser baamukutte gye buvuddeko ne mikwano gye Hamuza Melema, Gilbert Sesaazi ne babatwala ku poliisi e Ntebe.

Eno baabatwala n'emmotoka ze okuli Rolls-Royce ne Cross Country UBE 602H. Meddie Sentongo y'omu ku baabadde bawondera Nasser okumununula.

Hajji Sebaggala obumu ku bujulizi bw'alina, kwe kuli akatambi ke yafuna okuva e Dubai abamu ku bajulizi kwe kuli Nnamwandu wa AK 47, Margeret Kiweesi alabikira mu katambi nga yeekokkola Don Nasser kubanga gwe yaferera e Dubai yamulabira ku ye kyokka nga bw'abeera anyumya naye akozesa erinnya lya Hajji Sebaggala.

Era lwe yamuleeta e Uganda yakolagana ne banne nga bamulambuza ofi isi ez'enjawulo nga bazitimbyemu ebifaananyi bya Hajji Sebaggala kyokka nga bagamba omukazi nti okumutuukako olina okuyita mu mitendera mingi.

Ng'amutegeeza nti alina zaabu mungi gw'asobola okubaguza. Omusango gw'okweyita ky'atali guli ku fayiro KMP GEF 322/2018 NE O/M/13/F/P.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...