TOP

Ekyana kitadde Rabadaba mu 'tageti' n'asoberwa

Added 22nd December 2018

Ekyana kitadde Rabadaba mu ‘tageti’ n’asoberwa

KYANAKIWALA ekyazze kyesaze akatimba nga kikirako ekigenda okuvuba kitadde Rabadaba eyakazibwako erya Rabadaba Mukyamu mu tageti katono yeegaane erinnya lye.

Okumanya Rabadaba yakyamuse, yatuuse n'okwerabira abadigize abalala be yabadde alina okuyimbira n'asooka asanyusa ekyana kino bakira ekimwekulukuunya ku fulaayi.

Kyanakiwala kino kyazze mpola ne kisooka kiddugaza emmeeza eyabadde okumpi ne Rabadaba w'ayimbira olwo ne kitandika okutega akanyeebwa okutuusa bwe yakaguddemu.

Yavudde ku by'okuyimba n'alobera ku kyanakiwala olwo n'atandika okukikwatirira eno nga bw'akisitula mu bbanga n'okukiwembejja. Kyasoose kunyumirwa naye kyatuuse ekiseera ne kibikoowa naye ng'Omukyamu afuuse ezzike okutuusa lwe kyadduse mu bbaaala. Byabadde mu bbaala ya Amnesia ku ntujjo ya Campus Night

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...