TOP

Nze siva wano mpozzi nga muleese guleeda

Added 10th March 2019

ONO maama w’abaana Lilian Nabukenya buli lw’ayiwa otwenge mu ttama ng’atabuka. Ava mu mbeera n’amokkola agagambo nga bwavuma buli amusala mu maaso omuli n’abaana abato.

Abazadde balabye kibasusseeko kwe kumuwawaabira ewa ssentebe w'ekyalo mu Ddobi Zooni. Azze amuyita enfunda eziwera ng'amulabula ku muze guno kyokka nga tawulira.

Balabye kisusse, ssentebe Paul Mukwaya kwe kutuuza olukiiko lw'ekyalo okukangavvula Nabukenya.

Bwe baamugambye nti bamuwadde emyezi ebiri asenguke n'akontola ndowooza ng'abiyita bya lusaago kyokka yagenze okulaba nga buli omu amuwaako obujulizi omuli ne baabadde ayita mikwano gye.

Nabukenya yawuliddwa nga yeeyogeza nti ku nsi teri kigambo kiwemula era buli ekiri ku mubiri gw'omuntu si kibi era talaba lwaki akyogera akikweka.

Yagasseeko nti tagenda kuva ku kyalo kino okuggyako nga baleese guleeda kubanga ‘Endagamuntu' gy'alina eraga nti mutuuze wa Dobi zooni.

Bwe yalabye ng'abatuuze bamukaliddemu kwe kusaba bamusonyiwe omulundi ogusembayo kyokka ne bagaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...