
Agamba nti ebbanga lye bamaze ne Chamillie era nga baatandika bonna okuyimba emyaka nga 20 emabega nga bali mu Kenya, tamanyi bulungi muwendi gwa mbaawo ze yatunulako.
Chamilli gye buvudeko yalangiridde nga bw'ayagala entebe y'obwa loodi Meeya kyokka wano Bebe we yeebuulizza oba ddala Chamilli alina ebisaanyizo by'entebe eno.
Bebe agamba nti talina buzibu kuwagira muganda we naye Chamilli yandisoose kwetereeza ng'akyalina obudde n'akola ku by'okusoma kwe kubanga yabeeranga ne Chamilli naye tawulirangako nti alina empapula ezimusobozesa okwesimbawo.
Bino Chamilli abiwakanyizza ng'agamba nti ye yasoma era S4 yagikola kyokka omuntu yenna awulira nga amuwakanya nti teyasoma agende ku UNEB anoonyereze ku Joseph Mayanja (Camillie) era awo ajja kutegeera Camilli y'ani. Oba Chamilli yasoma kutuuka wa? Nze naawe.