TOP

Abebivvulu beesunga mudidi gwa Pulezidenti

Added 22nd April 2019

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali ne Gen. Salim Saleh akulira ‘Wealth Creation’ abakulembeddemu ebibiina by’abayimbi ne bannakatemba ne babatwala mu maka ga Pulezidenti e Ntebe okumubuulira ebizibu byabwe yeeyamye okutumbula omulimu gwabwe bwe banaaba bakwasiddwa ssente Pulezidenti ze yakkirizza okubongera.

Mu bano mwe mwabadde n'abategesi b'ebivvulu abaludde nga bakaaba olwa ssente zaabwe ezaafiira mu bivvulu bya Bobi Wine ebya Kyarenga bye baali bategese wakati wa Octobere 20, 2018 ne January 2019 ne bisazibwamu.

Tonny Ssempijja yajjukirizza Pulezidenti Museveni ssente ze yabasuubiza oluvannyuma lw'okubawaako obukadde 200.

Mu babanja kuliko n'abaali bategesi ebivvulu mu kiseera Bobi Wine we baamukwatira e Ggulu n'okumusiba.

Ssempijja yategeezezza nti baabazeemu 1,857,340,000/- ezigenda okusasulwa bapulomoota 16 okwetooloola eggwanga era n'akkiriza okuzibawa.

Kyokka yabalabudde nti bw'abawa ssente zino bagende bakole emirimu gyabwe nga temuli byabufuzi era abanaabigattamu ajja kubayimiriza.

‘‘Bannange, mundeke nze amanyi ebyobufuzi nkolagane ne bannabyabufuzi ffe tumanyi olulimi lwe twogera''.

Mu nsisinkano eno yakkiriza okuyamba bakanyama abeegattira mu kibiina kya Umbrella for Uganda Bouncers Association (UBBA) okubatendeka baweebwe yunifoomu, densite, Radio Calls ne ssente z'okwewola bakulaakulanye omulimu gwabwe.

Mu lukiiko luno, Pulezidenti yakwasizza Gen. Elly Kayanja okumuyambako ku nsonga z'abayimbi, bannakatemba n'abategesi b'ebivvulu.

Abalala abaabadde mu lukiiko luno kuliko: Omumyuka wa Salim Saleh ku bya Wealth Creation, Lt. Gen. Charles Angina, minisita Nakiwala Kiyingi, Minisita Haruna Kasolo, omuyimbi Geoffrey Lutaaya ku lwa Dream Artist SACCO eyajjukiza Pulezidenti ssente ze yabasuubizza n'alagira babawe obukadde 200, Mariam Ndagire eyakiikiridde abayimbi abakyala, Andrew Benon Kibuuka n'abalala.

Pulezidenti Museveni ng'abuuza ku Kibuuka. Ku ddyo ne Tonny Ssempijja omukwanaganya wa UMP-NET.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...