TOP

Bajjo anyiga biwundu nga bw'awera

Added 24th April 2019

Ekivvulu kya ‘Kyalenga Extra’ bwe kyasaziddwaamu n’akanyoolagano akaabaddewo nga Bobi Wine n’abategesi bakwatibwa, bapulomota ababadde bategese ekivvulu kino kati basazzeewo kuddukira mu kkooti nga bagamba nti bagenda kuwawaabira poliisi ne gavumenti okubafiiriza obutitimbe bwa ssente n’okubatulugunya.

Andy Mukasa owa Bajjo Events, omu ku bategesi eyasangiddwa mu ddwaaliro lya Sanyu Doctors Clinic e Bulenga gye yaweereddwa ekitanda olw'obuvune bwe yafunye ng'akwatibwa ku Mmande ne munne bwe baabadde bategese, Abby Musinguzi (Abitex) n'abalala, agamba nti obukambwe n'effujjo ebyabakoleddwaako tebigenda kubaggya ku mulamwa gwe baliko okulwanirira eddembe lyabwe ng'abategesi b'ebivvulu.

Bagamba nti kati ensonga bazitwala mu kkooti okulaba nti ebivvulu byabwe ebirala okuli eky'e Gulu ne Lira bikkirizibwa.

Bajjo bakira akuba mu kifuba okulaga amaanyi agamba kimuluma olw'obuvune bwe yafunye ng'abaserikale bamukwata okumuyingiza mmotoka ya poliisi ekola ng'ekkomera so nga n'amaaso gamubalagala n'olususu okumusiwa olwa kaamulali gwe baamufuuyidde.

Agamba nti munnamateeka waabwe Loodi Meeya Erias Lukwago ali mu kukola ku mpapula ze batwala mu kkooti era bali na mu kubalira ssente ze baafiiriddwa mu kupangisa ekibozesebwa n'okuteeka ebirango ku ttiivi, leediyo n'emikutu emirala.

Omusawo Joshua Isingoma ajjanjaba Bajjo yategeezezza nti yafunyeemu ku njawulo.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Fred Enanga, ebyatuuse ku Bajjo ne banne yabiyise ku batangira kumenya mateeka kubanga ekivvulu kyabwe kyabadde kisaziddwaamu olw'abategesi okulemererwa okutuukiriza ebisaanyizo bye baabalagidde era nti y'ensonga lwaki tebaabasibye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...