TOP

Grace Khan alangidde Luzinda obwerabize

Added 21st May 2019

OMUYIMBI Grace Khan owa Da Nu Eagles bamuwonyezza akatebe. Afunye Kojja Kitonsa akola nga maneja we era amuteekamu ssente.

Grace Khan ebintu oluteredde n'akuba oluyimba lw'atuumye ‘‘Wakyuka'' ng'alangira omulenzi we eyamukyawa okuba omwerabize n'obutajjukira gye baatandikira kubanga baali bubi.

Ayongerako n'agamba nti oba kale laavu yaggwaawo ekyo si kikulu naye basigale nga bamukwano ne yeewuunya abantu abamulimbalimba kubanga teyali bwatyo.

Bbo ababisomera mu bbaasa baatandikiddewo okubityebeka nti omuwala ono yandiba ng'alangira muyimbi munne Jovan Luzinda bwe bayimba bonna mu Da Nu Eagles.

Batugambye nti abantu bano baaliko ab'omukwano ng'omu kaaliddeko n'omulala kalyako nga n'oluusi Grace Khan amanyi okukuba ekikonde ng'asanze omuwala amuzannyirako.

Batugambye nti ne Jovan Luzinda bwe yabadde ku kitanda, Grace Khan y'omu ku baamuyambye okusasula ssente z'eddwaaliro kyokka n'atasiima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono