
MWANAMUWALA Karole Kasita yazze ku siteegi nga yeetinkuula manya okuzina amazina ng'eno bw'ayawuza n'okunyeenya ekyensuti.
Owoolugambo waffe atugambye nti obwedda ali wabweru w'ebbaala nga yeesunga kunyiya muyimbi munne Cindy amazina n'okulaga abadigize nti tanyigirwa mu ttooke. Bwe baalinnye ku siteegi ne Cindy nga bayimba oluyimba lwabwe ‘‘Mwoto'' abantu ne babakubira enduulu n'okumuwaana.
Mu kwetinkuula n'okwawuza, akawale k'akatimba ke yabadde yeesaze kaapasuze olwo enduulu n'evuga. Mukaziwattu yalowoozezza nti amazina ge ge gabakubya enduulu n'ayongeramu ggiya.
Yabadde mu bbaala ya Amnesia gye buvuddeko. Cindy yamukubye akaama kyokka n'asigala ng'azina okutuusa ensonyi lwe zaamukutte n'adduka ku siteegi. Wano abadigize we beebuulizza nti ssereebu waabwe engoye agula damegi? Ekyamuyambye munda mwabaddemu akagoye akalala.