TOP

Fresh Kid 'Uganda' bamukubyeko ekyasi

Added 13th June 2019

EBY’OKUSIKA omuguwa wakati wa taata wa Fresh Kid ne maneja nga bikyagenda mu maaso, maneja atemye empenda n’asalawo okuwandiisa omuyimbi omuto omulala.

EBY'OKUSIKA omuguwa wakati wa taata wa Fresh Kid ne maneja nga bikyagenda mu maaso, maneja atemye empenda n'asalawo okuwandiisa omuyimbi omuto omulala.
 
Francis nga ye maneja wa Fresh Kid akubye olukuηηaana mw'ategeerezza nga bw'awandiisizza omuyimbi omupya amanyiddwa nga Rema K mu kibiina kya Texas era agenda kukolera wamu ne Fresh Kid.
 
Nga bw'olabira ddala ekika ky'omuziki Fresh Kid ky'akuba, ne Rema K ky'agenda okukuba ekya "Rugga Flow". Francis agamba nti musanyufu nnyo okufuna omuyimbi
omulala ate ng'amulabamu ekitone. Bano bombi ba myaka musanvu. Fresh Kid ku ngeri obwedda gye yeeyisaamu n'omuntu gwe baamuleetedde ng'oyinza okulowooza nti baamanyagana dda.
 
Obwedda beesunaasuna, bwe beekuba obwama n'okwekwata mu nviiri. Isaac Kuteesa taata wa Rema Kirabo (Rema K) yategeezezza nti bakkiriziganyizza ne maneja Francis n'amuwa omwana we, amuyambe okutumbula ekitone kye.
 
Rema K ye ategeezezza nti mwetegefu okuyimba ensi yona emumanye ate nga bw'asoma kubanga e Masaka abadde ayimba ate nga bw'asoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono