TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Kapere ensi emuwuubye n'addayo ku ssomero mu P4 ayige Olungereza

Kapere ensi emuwuubye n'addayo ku ssomero mu P4 ayige Olungereza

Added 4th July 2019

ABAGAMBA nti obutasoma buluma okuze balabika baabiraba anti ne Munnakatemba Kapere ensi bw’emuweweenyudde nga n’ebisima ebimu bimuyitako lwa butasoma n’asalawo waakiri addeyo ayige Olungereza.

Ono twamuguddeko ng'ali ku ssomero lya Makindye Citizens' Pre and Primary School ng'ayambadde bulungi yunifoomu ng'akutte n'ebitabo ayingira ekibiina okusoma.

Kapere yagambye nti yazzeeyo okusoma era agenda kusoma P4. Agamba nti yasazeewo agende mu ssomero lino kuba liri kumpi ne wabeera.

Kapere agamba nti, ayagala kusinga kusoma Lungereza kubanga omulembe guno ogwa "Dot Com" nga gwetaaga omuntu amanyi ku Lungereza n'okumanya ku kompyuta.

Ku ssomero yaakasomerawo wiiki bbiri zokka.

Wabula abamanyi Kapere nga balina abaana baabwe mu ssomero lino naddala mu P4 bafunye okweraliikirira nti abaana baabwe batuuse obutasoma ng'ebirowoozo babimalira ku Kapere by'akola.

Omusomesa w'Olungereza agamba nti waliwo ebigambo ebikaluubirira Kapere okwogera ate ng'ebirala tamanyi w'abyogerera, okugeza "Because,". tamanyi ddi lwe bakikozesa n'agamba nti bagenda kumuyamba okubikwata byonna ayigire ddala olulimi luno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...