TOP

Bajjo akubye Lukwago akaama mu kkooti

Added 8th July 2019

OMUTEGESI w’ebivvulu Ssaalongo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events ekkomera limunyize.

Yazze mu kkooti nga yenna awotose ekyakanze abawagizi be ne mikwano gye abaakulembeddwaamu Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex (ku kkono).

Kyokka bano yabazizzaamu amaanyi bwe yagambye nti wadde embeera gy'alimu emunyiga naye alina essuubi nti buli kimu kijja kuggwa n'e Luzira aveeyo.

Bajjo ali ku misango ebiri okuli: ogw'okukuma omuliro mu bantu n'okwogera ebigambo ebigendereddwaamu okunyiiza omukulembeze w'eggwanga.

Ku Lwokutaano yaleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road era ku mulundi guno yabadde asuubira okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti nga bwe yasaba kyokka kyamubuuseeko omulamuzi Gladys Kamasanyu bwe yakamutemye nti mulamuzi munne Stella Amabirisi ali mu mitambo gy'omusongo gwe taliiwo n'alagira addizibweyo e Luzira okutuusa ku Lwokuna nga July 11, 2019.

Wadde nga munnamateeka we Loodi meeya, Ssaalongo Erias Lukwago yagezezzaako okunnyonnyola omulamuzi nti omuntu we (Bajjo) mulwadde alumizibwa nnyo mu lubuto ng'era yeetaaga okufuna obujjanjabi obwamangu nasaba ayimbulwe ku kakalu, Omulamuzi yamutegeezezza kimu nti ye akolera ku biragiro bye baamuwadde okwongezayo omusango guno.

Bajjo yakwatibwa nga June 15, 2019 okuva ku bbaala ya Mix Louge ku Centenary Park bwe baali mu lukung'aana lwa bannamawulire ne Abtex.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...