TOP

Nantongo afunye omusajja amuwuuba

Added 13th July 2019

‘‘BALI baveeko bannage nzekka, totya bambi ojja kuba bulungi, gwo omukwano nagukuguka gwonna buli kadde nja kuba nkusanyusa lwakuba olwawo okulabika, oli wa bbula nnyo malayika naye nze.....mwana gwe ompuuba, ompuubye ofuuse kawuuba......’’ n’ebirala bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Carol Nantongo olupya ‘‘Ompuuba’’ lwe yafulumizza.

 Carol Nantongo mu kitundu kya vidiyo ekimu.

Carol Nantongo mu kitundu kya vidiyo ekimu.

Oluyimba luno lwa mukwano nga lutandika n'ekidongo ekitaleka muntu mu ntebe olw'obuwoomi obukirimu.

Olumala n'asumulula ebigambo ebiwooma nga biwaana omusajja gwe yafunye ng'agamba nti amuwuubye mu by'omukwano n'amatira era essanyu lyonna ly'alina ggaayi ono yalimuwadde.

Alina waasabira muninkini we ono...aleete laavu yonna gy'alina kubanga amulinze.

Agamba nti abasajja abamukwana abatambuza n'okubaguumaaza nga bw'abategeeza nga bw'alina omusajja abasinga mu kano akazannyo ka laavu lwakuba alwawo okulabika.

Okumanya mwanamuwala ono awaanye omusajja, atuuse n'okumuyita ‘omusota ogubojja ‘n'alayira nti okumufiirwa waakiri ayonoona bwatyo n'alabula abawala b'ekibuga okumwesonyiwa'.

Oluyimba luno alugasse ku nnyimba endala zazze akuba okuli: Tukiggale, Kamese Tambula, Ontuuka, Misumaali, Nakusiima, Ndagirira ne Sirwana lwe yakuba ne Sheebah Karungi olubawanise ku ntikko.

Maneja Judas yategeezezza nti oluyimba luno baalukoledde mu situdiyo ya Sabula nga Pulodyusa Baur ye yalukuttemu.

Lwawandiikiddwa Judas ne Nickoly ate aba Virtial Media ne bakola vidiyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...