TOP

Rema Namakula takyagatta buliri na Eddy Kenzo?

Added 15th July 2019

AGAVA e Sseguku ku Ntebe Road ge g’abayimbi Eddy Kenzo ne mukyala we Rema Namakula abamu gwe beeyitira Maama Amaal okuba nga tebakyagatta buliri.

AGAVA e Sseguku ku Ntebe Road ge g'abayimbi Eddy Kenzo ne mukyala we Rema Namakula abamu gwe beeyitira Maama Amaal okuba nga tebakyagatta buliri.

Omu banywanyi ba Rema yatugambye nti omukyala ono bw'aba akyaliyo e Sseguku, alabika ali ku njogera ya ‘‘ndiwo lw'abaana'' mpozzi n'okukuuma emmaali ng'agamba nti tajja kukkiriza Kenzo kumutwalako nnyumba eno ng'ate naye yateekako ssente nnyingi nga bagigula.

Waliwo n'atukubye akaama nti Rema yalaba akooye empewo y'ekiro kwe kufunayo Dokita amubiita nga ne gye buvuddeko yamuwoowa.

Bino okubaawo nga babaddeko ku ddwaaliro erimu ku Bombo Road okwetegereza ebintu eby'enjawulo ku bulamu bwabwe omwali ne Rema okuggyamu obuweta obuziyiza okufuna olubuto bwe yali akozesa.

Omuntu ono yatugambye nti bwe mulaba Rema ng'ayoya obuyembe oba okugejja ebitali bya bulijjo ng'amanya nti Dokita amukozeemu omulimu kubanga ekituufu kiri nti ye ne Kenzo ebya laavu byaggwaawo.

Omukyala ono okutuuka ku kino aludde ng'alaajanira Eddy Kenzo okumuwa omukwano ogumala n'atuuka n'okumugamba nti bwe bamukubanga bbusu teyeekanga.

Obubaka obusinga Rema azze abuyisa mu nnyinba ze nga: Linda, Siri Muyembe, Touch my body, Tikkula n'olupya ‘Be with u'.

Kigambibwa nti Eddy Kenzo kati akasibira mu bitundu by'e Buziga okumpi ne Buziga Country Resort gy'abeera n'abantu be n'okwetooloolwa abawala ab'enjawulo nga tetunnaba kutegeera mutuufu yakubye Maama Amaal bbusu ne bamusuula mu ggoloofa amatiribona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.