TOP

Abtex ne Kabanda bakyaguluba

Added 27th July 2019

EBY’OMUTEGESI w’ebivvulu Abbey Musinguzi (owookubiri ku kkono) amanyiddwa nga Abtex n’omusuubuzi w’engatto, era ‘manerenda’, John Kabanda (mu katono) tebinnaggwa!

Abtex atutte Kabanda mu kkooti ng'ayagala amuliyirire obukadde 600 lwa kumwonoonera linnya.

Kabanda amaze ebbanga ng'aliisa Abtex akakanja olw'ebbanja lya 19,300,000/- z'agamba nti yazimuwola ne banne abalala basatu okutegeka ekivvulu omwaka oguwedde ne zimulema okusasula.

Ono azze amulinnya akagere era lumu yaamutaayirizza ku kitebe kya Vision Group e Lugogo nga buli lw'amukwata abaako omutemwa gw'asasula okutuusa lwe yazimalayo.

Wabula Abtex agamba nti wadde yasasula Kabanda ssente obwedda zaayita ‘ez'ekifere', yasigala amutambulirako ng'olumu akozesa poliisi n'agattako okumusalako ebigambo ng'amuyita omubbi era omuyaaye ky'agamba nti kimwonoonera erinnya.

Abtex agamba nti ne ssente ezoogerwako Kabanda teyazimuwola wabula zaava mu kweyimira bayimbi Mathias Walukaaga ne Vincent Ssegawa abeewoola obukadde 10 ku Kabanda ne zibalema okusasula ensonga zonna n'azizza ku ye (Abtex).

Mu mbeera eya atakulekera naawe tomulekera, ku Lwokuna, Abtex ng'ali ne munnamateeka we Abubakar Ssekanjako baagenze mu kkooti enkulu ekola ku misango gy'engassi ne bawawaabira Kabanda ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Mu mpaaba ayagala kkooti erangirire nti ddala Kabanda yamwonoonera erinnya era amuliyirire.

Wabula Kabanda bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti alize kumuyita mu kkooti battunke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...

Abasuubuzi nga balaga sipiika bye batunda

Speaker asisinkanye abasuub...

SIPPIKA  wa palamenti  Rebeeca Alitwala Kadaga asabye abakungu b'ekitongole ky'omusolo URA okukomya okunyigiriza...

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...