TOP

Ow'e Makerere eyazze ne kkeesi y'ekyuma bamujunye

Added 12th August 2019

OMUVUBUKA Henry Ssuubi Kiyimba 20, y’omu ku baakola obulungi ebigezo bya S6 era n’aweebwa ekifo mu yunivasite y’e Makerere. Wiiki ewedde yayingiddewo n’enjogera ya ‘‘jjangu nga bw’oli’’ atandike okusoma. Yazze ne kkeesi y’ekyuma, ekiveera kya ‘Usofia’ n’akasawo ku mugongo atandike okusoma.

 Kiyimba ne Polof. Nawangwe

Kiyimba ne Polof. Nawangwe

OMUVUBUKA Henry Ssuubi Kiyimba 20, y'omu ku baakola obulungi ebigezo bya S6 era n'aweebwa ekifo mu yunivasite y'e Makerere. Wiiki ewedde yayingiddewo n'enjogera ya ‘‘jjangu nga bw'oli'' atandike okusoma.

Yazze ne kkeesi y'ekyuma, ekiveera kya ‘Usofia' n'akasawo ku mugongo atandike okusoma. Bayizi banne olw'amulabye ng'ayingira yuniekisulo kya yunivasite Hall bazze mu kuseka nga balowooza ali mu kifo kikyamu.

Baamukubye ebifaananyi ne babiteeka ku yintanenti nga bwe bamujerega ekyanyiizizza abantu era bangi baakwatiddwako ne beekolamu omulimu okumuyamba ave mu mbeera embi. Mu bano mwe mwabadde omumyuka wa Cansala wa yunivasite y'e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe eyamuyise n'amugumya n'okumubuulirira.

Ono yeegattiddwaako Cedric Babu ne Allan Kasujja abaakulembeddemu ekiwendo ky'okumunoonyeza obuyambi omuli obuliri, kkeesi ey'omulembe, engoye, essimu, laptop n'ebirala. Kiyimba yavudde Kammengo nga yasomera St. Bruno's Sserunkuma SS Ggoli gye yakolera PEM/ICT n'afuna obubonero 17.

Yagambye nti newankubadde yali ayagala kusoma bwa yinginiya, mumativu ne kkoosi y'obusomesa gye baamuwadde n'alaga essanyu olw'abantu abavuddeyo okumuyamba n'agamba nti Katonda mulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...