
PULEZIDENTI wa Kadongo Kamu, Ronald Kawuki eyeeyita DJ Kikoofi ira ali mu maziga. Ababbi baamuyingiridde ekiro ne bamenya mmotoka ye ey'ekika kya Toyota Tounace nnamba UAM 618Q ne bakuliita n'ensawo ye omwabadde ebiwandiiko bye eby'omugaso okuli kaadi za mmotoka ze ebbiri, endagaano z'ettaka n'ebiwandiiko ebirala.
Ebintu bino baabimubbyeko wiiki ewedde e Bunnamwaya mu Makindye Ssaabagabo. Owoolugambo waffe atugambye nti Dj. Kikoofi ira yamusanze ku poliisi y'e Katwe ng'awotose nga yeebuuza ekigendererwa ky'ababbi bano okuleka mmotoka ne batwala ensawo ye.
Yagambye nti kirabika waliwo omuntu amutambulirako. Omusango guli ku fayiro nnamba SDREF 82/13/08/2019.