TOP

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo

Added 19th August 2019

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde pikipiki, eggaali mmaanyi ga kifuba, bulangiti, essigiri ne ssente enkalu. Omu ku banywanyi ba Kato Lubwama atugambye nti ebintu bino byawemmense obukadde obusukka mu 50.

 Kato Lubwama ng'asiika empuuta

Kato Lubwama ng'asiika empuuta

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b'e Lubaga South ebintu omwabadde pikipiki, eggaali mmaanyi ga kifuba, bulangiti, essigiri ne ssente enkalu.

Omu ku banywanyi ba Kato Lubwama atugambye nti ebintu bino byawemmense obukadde obusukka mu 50.

 ato ubwama ngagaba eggaali Kato Lubwama ng'agaba eggaali

 


Omukolo gwabadde Busega mu Kibumbiro nga gwatandise n'okukola bulungibwansi n'abatuuze. Okutuuka e Kibumbiro awaabadde omukolo, Kato Lubwama yagenze atambula nga bw'abuuza ku balonzi be.

Waliwo we yasanze omukyala asiika empuuta akawoowo ne kamukuba n'akyama n'akwata ejjaalo (ekisiika empuuta) n'atandika okukebera ebifi byayinza okumugulako.

bamu ku bakadde abaafunye bulangitiAbamu ku bakadde abaafunye bulangiti

 

Guno omukolo we gugyidde nga Kato Lubwama y'akagaba ebintu nga bino mu miruka emirala omuli Ndeeba yabawa bodaboda 15, Nateete bodaboda munaana, ebyalaani ne Ambyulensi ate Kabowa n'abawa bodaboda munaana, ebyalaani n'ebyuma ebyoza mmotoka.

 ato ubwama ngakola bulungibwansi nabatuuze Kato Lubwama ng'akola bulungibwansi n'abatuuze

 

Kato Lubwama yagambye nti yaakasaasaanya obukadde obusukka mu 200 ng'addiza ku balonzi be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...