
Kabako ku siteegi
OMUYIMBI Yusuf Ssennabulya eyeeyita Roden Y Kabako ‘Magye ga ku ttaka' ne mukyala we kirabika engoye zibasiiwa. Kabako alina ekivvulu kye yabaddeko ku Freedom City e Namasuba.
Yazze yeesaze ekinu n'omujoozi era olwatuuse ne yeeyambulamu omujoozi n'atandika okukubira abadigize omuziki nga bwe yeecanga. Twabadde tukyatenda Kabako okwecangira ku siteegi ng'alinnyiddwaako emmandwa ne muninkini we manya mukyala we n'ayingirawo n'atandika okumukuba ebifaananyi n'okukwata vidiyo ng'akozesa essimu.

Ono yabadde yeesaze bbulawuzi ya kkundi sho, akapale akakoma mu bisambi akaakazibwako erya ‘Patula' n'ekikooti kya ‘damegi' ng'oyinza okulowooza nti ali waka. Abadigize baawuliddwa nga bagamba nti abaagalana bano beesaana kubanga tewali anenya munne kwambala bubi.