
Catherine Kusaasira
CATHERINE Kusaasira abamu gwe baakazaako erya Maama Kabina akooye abasajja abatulugunya abakazi. Abakubyemu oluyimba ‘Mutulugunye' ekitegeeza ‘‘Tears of a woman' oba ‘Amaziga g'omukazi'.
Kusaasira alabye oluyimba luno lukutte bamaama omubabiro n'asalawo okutegekayo ekivvulu ayongere okulangira abasajja abalinnyirira abakazi. Ekivvulu kino ekituumiddwa ‘‘Catherine Kusaasira live in Tears of a woman' kigenda kubeera ku Serena Hotel nga September 20, 2019.
Kusaasira agamba nti abakazi abasinga omuli n'abanene mu gavumenti oba abakyala abaasoma batudde ku nkato nga buli kiseera babeera mu maziga. Ate bwe gutuuka ku banoonya emirimu, abayizi mu matendekero aga waggulu abasajja babatulugunya nnyo ng'akaboozi bakakozesanga omutego okufuna bye baagala n'abali mu bufumbo okubasiibya ku miggo.
Newankubadde bangi bayita mu mbeera eno, bafa kisiiri olw'okutya okuswala bwe batyo ne basigala nga bakaaba emirembe gyonna.
Ekivvulu kino kitegekeddwa Musa Kavuma owa KT Events ne kiwagirwa Vision Group efulumya ne Bukedde.
Okuyingira 100,000/- ate emmeeza obukadde busatu. Kusaasira alina ennyimba endala nga Teriba ddogo, Nkola ya takisi n'endala.