TOP

Babiri bawangudde empaka z'okulya

Added 11th October 2019

Empaka zino zawanguddwa abavubuka babiri nga waliwo omu eyasesezza ennyo abalabi bwe yatuuse okulya amagi n’agaliirako ebikuta ate amenvu teyatawaanye kugasusa ng’alya buli n’ebikuta byakwo.

 Abavubuka nga bavaabira ebyokulya mu mpaka z'okulya.

Abavubuka nga bavaabira ebyokulya mu mpaka z'okulya.

OLUGERO olugamba nti akafa omukkuto tekalulula, lutuukidde bulungi ku mpaka z'okulya ezaategekeddwa kansala wa Kyebando North, Henry Walakira ku lunaku lw'Ameefuga, abavubuka bwe beesowoddeyo okwetaba mu mpaka zino.

 Balonze abavubuka mu buli zooni okuli Nsooba, Katale, Central ne zooni endala nga  babadde balina okulya   ebyokulya  okuli akagaati ka mwana akaaba kamu, amagi abiri (2),  amenvu  eminwe 14 akacupa k'amazzi kamu ne soda.

 Abavubuka abasinga obwedda balya tebawummuza mumwa waubla okwatuuse okulya amenvu awo abasinga we baaviiriddemu anti gaabadde mangi.

 bakontanyi nga bavuubiika ebyokulya mu mpaka zokulya ezaabadde e yebando Abakontanyi nga bavuubiika ebyokulya mu mpaka z'okulya ezaabadde e Kyebando.

 

 Abaasobodde okunywa mu bannaabwe akendo yabadde  Ssonko Mataayo ng'ono yasoose kulya mugaati, amagi, amazzi, soda n'azzaako amenvu.  Abalala obwedda kibayitirirako  ne batanaka.

 Abamu obwedda bw ekituuka mu kunywa ebyokunywa okwabadde soda n'amazzi nga babisumulula bubi ne biyiika olwo abaabadde basala empaka okwabadde Sam Bidda Mugalu ne babasazaamu.

Wabula bangi ku baavuganyizza  ekiseera kyatuuse ne bazza bye baalidde olwo abasazi b'empaka ne babasazaamu.

Empaka zino zawanguddwa abavubuka babiri nga waliwo omu eyasesezza ennyo abalabi bwe yatuuse okulya amagi n'agaliirako ebikuta ate amenvu teyatawaanye kugasusa  ng'alya buli n'ebikuta byakwo.

 bawagizi ba atayo onko nga bamuyozaayoza oluvannyuma lwokuwangula empaka zokulya Abawagizi ba Matayo Sonko nga bamuyozaayoza oluvannyuma lw'okuwangula empaka z'okulya.

 

Kansala Walakira yategeezezza nti abavubuka bangi abali mu bitundu abalina ebitone ebitali bimu kyokka ne bafiira eyo obwavu olw'okubulwa omuntu asobola okubazuulamu ebitone ebyo.

Yagambye nti omuwanguzi bagenda kumuwa erinnya lya ssaabafensi olw'okulaga ekitone mu kulya. Empaka zino zaatandise na misinde mubunabyaalo, ssaako empaka z'okunyiiga, ne ludo nga mu byonna abantu beewangulidde ebirabo okuli kimeeme w'embuzi ne sseddume w'ente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...