TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde embaga za Haruna Mubiru

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde embaga za Haruna Mubiru

Added 17th October 2019

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.

 Haruna Mubiru ne Raudha Stella Ntakke ku mbaga yaabwe.

Haruna Mubiru ne Raudha Stella Ntakke ku mbaga yaabwe.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

NAYE nga nsonga ki Haruna Mubiru gy'awa okuba nti abakyala be ababiri abamanyiddwa asooka ku bafunyisa mbuto ne balyoka bakola emikolo. 

 audha yali lubuto lukulu we yamuwasiza Raudha yali lubuto lukulu we yamuwasiza.

 

muyimbi antume ngayimbira audha ku mukolo gwabwe ne itookeOmuyimbi Nantume ng'ayimbira Raudha ku mukolo gwabwe ne Kitooke.

 

aruna ubiru ne muwala wa takke ku kwanjula kwabweHaruna Mubiru ne muwala wa Ntakke ku kwanjula kwabwe.

 

 audha ne aruna mu kwanjula kwabwe Raudha ne Haruna mu kwanjula kwabwe.

 

Ate asooka na kukakasa nti embuto ezo zikuze n'azirabanako n'amaasoge n'alyoka akakasa so si kumala kuzirabira mu byuma by'abazungu mu malwaliro. 

Bw'oba owakana jjukira bwe yawasa Raudha (eyali Stella) Ssonko muwala w'omugagga, Guster Lule Ntakke mu May wa 2010, ng'ali lubuto lukulu ate laba mu April wa 2012 bw'ayanjulwa Hadijja Lumala muwala wa Moses Lumala eyali avuga emmotoka z'empaka ate nga naye ali lubuto. 

 aruna ubiru lwe yawasa adijah umala Haruna Mubiru lwe yawasa Hadijah Lumala. Ono naye yali lubuto lukulu.

 

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Baabyogera nti ate Haruna tawasa mukazi ng'abamuzaala tebalina ssente oba abategeera atya?

Ebyo naye katubyerekereze awase bakazi be wadde nga Raudha ali mu Amerika gy'amaze kati emyaka ebiri ne ku Social Media yakyusa amannya naye nga kw'ali nnyo era abeera abalaba.

Bakazi ba Haruna Mubiru abalala

 Wabula alinayo abakyala abalala babiri, Zaina ne Faridah Mubiru oyo gwe yasooka okuwasa era mukyala mukulu gwe yayimbamu oluyimba lwa Kitooke Kifansalira ali ne mu vuidiyo eyo, be yawasa nga tebasoose kuba na mbuto. Naye era baayawukana nga baabigwo. Byeyo.

Faridah muka Mubiru omukulu gwe yayimbamu oluyimba lwa Kitooke Kifa nsalira.

 aridah muka aruna ubiru omukulu azaala abaana be abakulu Faridah muka Haruna Mubiru omukulu azaala abaana be abakulu.

 

 

 aina no naye twamuwandiikako gye buvuddeko Zaina Ono naye twamuwandiikako gye buvuddeko.
 
 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...