TOP

Dr. Bitone anoonya mugaati

Added 1st November 2019

Dr. Bitone anoonya mugaati

Omuyimbi Dennis Kawuki eyeeyita Dr. Bitone ali mu keetalo. Ennaku zino asiiba mu bantu be mu bitundu by'e Busaabala era mu biseera by'okugema kw'ekikungo abadde abayitamu ng'abakubiriza okutwala abaana okubagemesa kubanga be bakulembeze b'enkya nga tubeetaaga balamu.

Mu kiseera kye kimu abadde abajjukiza okumulabiranga ddala mu kivvulu kye yatuumye ‘‘Time yo mu Daddy Concert'' ku Papaz Spot e Makindye nga November 8, 2019 ng'agamba nti kye kiseera naye alye ku mugaati oguwera.

Loodi ono eyateekako omuyimbi Jose Chameleone ku bunkenke olw'okuyimba mu ddoboozi lye alina ennyimba nga:

Tonefasa, Topowa, Oli mufere, Kankikole, Mukyala, Mawazo n'endala nnyingi. Ku kuyimba agattako okuwandiikira abayimbi ennyimba ng'era baakoleddeko kuliko: Julie Mutesaasira, Joy Tendo, Glydes Mirembe, Fyonna Nsubuga n'abalala.

Yagambye nti mu kivvulu kino agenda kubeera ne banywanyi ne okuli: B2C, John Blaq, Spice Diana, Mesach Ssemakula, MC Mariach n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...